Home » News & Politics » Owa UPDF abadde akwasisa kiragiro kya kaafiyu bamuggyemu eriiso

Owa UPDF abadde akwasisa kiragiro kya kaafiyu bamuggyemu eriiso

Written By Akawungeezi on Monday, Apr 13, 2020 | 12:57 PM

 
OMUSERIKALE wa UPDF yavuddemu eriiso oluvannyuma lw’okulwanagana n’omuntu wa bulijjo mu budde bwa Kaafiyu. Tutegedde nti Private Alex Niwanyine omukuumi w’omubaka wa RDC wa Amuru yabadde ayambako mukama we mu bikwekweto olwo omutuuze Joseph Olido n’abaako ky’amufumita mu liiso. Olido yegaanye okulumya omuserikale nga agamba nti akambe ku mmundu y’omujaasi omulala bwe baali basikangana naye ke katuusa ebisago ku Niwanyine. #NTVNews #Akawungeezi For more news visit http://www.ntv.co.ug Follow us on Twitter http://www.twitter.com/ntvuganda Like our Facebook page http://www.facebook.com/NTVUganda